Uncategorized

Aba Cryptocurrency okufera abantu bbiriyooni 10 biranze

Aba Cryptocurrency okufera abantu bbiriyooni 10 biranze

Engeri Aba Cryptocurrency gye banyaze abantu bbiriyooni 10
OMUWENDO gw’abantu abalumiriza kkampuni ya Global Cryptocurrency Ltd okubafera gweyongedde ku poliisi n’ekitongole ekiketta mu ggwanga ekya ISO fayiro n’esindikibwa ku kitebe ky’abanoonyereza ku buzzi bw’emisango e Kibuli.
We bwazibidde ku Lwokuna, ng’abantu abaakakola sitatimenti ku poliisi wokka nga bakunukkiriza 300 nga n’abava mu bitundu by’eggwanga okuli: Gulu, Mubende, Masaka, Kyotera, Mbale n’awalala nabo bangi ekyawalirizza poliisi okuggya fayiro ku Old Kampala ne bagiweereza e Kibuli.

Bo abaabadde baakagenda mu ISO eyakutte Andrew Kaggwa abadde akulira kkampuni eno nabo baabadde basoba mu 100.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti, ensonga za Global Cryptocurrency zaasusse obuyinza bwa poliisi mu Kampala n’emiriraano olw’abantu abava mu bitundu by’eggwanga ebiri wabweru wa Kampala kwe kusalawo fayiro bagiwereze e Kibuli.
Ate ye Dayirekita wa ISO, Col. Frank Kaka Bagyenda yagambye nti, ba dayirekita ba Global Crypto currency balina ebiruubirirwa byabwe ng’abantu era banoonyereza okusukka ku kwagala okwegagaggawaza.

Nga November 11, 2019 abantu lwe baatandika okwekalakaasa nga babanja ssente zaabwe.

Kaggwa yayita olukiiko lwa bakasitoma bonna abaali batadde ssente mu Global Crypto currency ku Pope Paul Memorial mu Ndeeba okwogerezeganya nabo ku nsonga za ssente zaabwe.
Austin Ndife alumiriza nti yabbiddwa obukadde 19 yagambye nti, batuula ku Pope Paul olunaku lwonna kyokka Kaggwa teyalabikako okutuusa ku ssaawa ssatu ez’ekiro nga bakyamulinze.
Wabula Kaggwa mu sitatimenti gye yakoze yagambye nti, yali agenda mu lukiiko looya we n’amugaana n’amugamba nti ye k’agende akiikirire kkampuni wabula Ndife agamba nti, ne looya teyalabikako.
Kaka yagambye nti, ekibalo kya Kaggwa ne banne, kyali kya kukungaanya bantu ku Pope Paul babalinde nga tebabalaba batandike okwekalakaasa nga banenya Gavumenti wabula ne babeera balabufu tebaakikola.
Abeebyokwerinda era balina olukalala lwa bannabyabufuzi 12 okuli ne baminisita be bagamba nti babanoonyerezaako oluvannyuma lw’okusangibwa mu biwandiiko bya Global Cryptocurrency nga be bamu ku babadde balinamu emigabo kyokka olukalala luno kyabadde tekinnakakasibwa oba nga ddala lutuufu.
KAGGWA YASOOKA KUKWATIBWA KU BY’OKUFERA ABAZADDE E MASAKA
Bwe yakwatiddwa, Kaggwa yagambye nti, guno omulundi gwabadde gwakubiri okumukwata.
Omulundi ogwasooka baamukwata ku bigambibwa nti yali afeze abazadde okuwa abaana baabwe bbasale okusoma mu bitundu by’e Masaka n’emiriraano.
Yagambye nti, waliwo Abazungu abajja mu Uganda mu 2012 ne bamutegeeza nti baagala abaana ab’okuweerera ne bamuwa omulimu gw’okubafunira abaana era n’agenda mu bazadde ng’abasaba abaana kyokka oluvannyuma poliisi n’emukwata nga bamuteebereza okubeera omufere era ne bamusiba mu kkomera.
Yagasseeko nti, guno gwabadde mulundi gwakubiri okumukwata n’agamba waliwo abantu mu kkampuni baabadde akozesa abaamuviiriddeko okufi irizibwa kuno.
Yagambye nti, waliwo kkampuni eyaggulawo mu paaka empya ekola emirimu gye gimu gye babadde bakola eyayita mu bakozi be ne babasuubiza okubawa ssente ku buli kaasitoma gwe babatwalira era bakasitoma bonna babadde babapaazizza.
Kaka ne Onyango baategeezezza nti, bakyali ku muyiggo gwa Hudson Ntende dayirekita wa kkampuni omulala eyadduse.
Abantu abasoba mu 1,000 kigambibwa nti be baafereddwa mu kkampuni eno nga ssente ze babanja kigambibwa nti ziri mu buwumbi 10.

Comment here